1 Thessalonians 5:2-7

2 aKubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro. 3Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.

4 bNaye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi; 5Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza. 6 cNoolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga. 7 dKubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro.
Copyright information for LugEEEE